Breaking
News: Bobi Wine erinnya lya Ssentamu lya lugero oluggwayo nti? Ku myaka 64 egyamefuga M7 afuzeeko emeka? News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya etinta era ekyatinta. News: Tubaagaliza olunaku lwamefuga olulungi.
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 291 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Katikkiro asisinkanye abaami b’Amagombolola g’Obwakabaka

July 13, 2022 · Mubiru Ali
Katikkiro Charles Peter Mayiga; “Nsisinkanye abaami b’Amagombolola g’Obwakabaka nga abasinga ku bbo bakyali baggya mu buweereza buno. Mbasabye okutandika emirimu mbagirawo ate n’okola enteekateeka ze banaagoberera.
Mbakuutidde okugeberera emitendera gy’obukulembeze bw’Obwakabaka nga bakola emirimu gyabwe, ate n’okwettanira ennyingo ennya ez’Omulembe Omuggya; Obuyiiya; Obunyiikivu; Obwerufu, n’Okukola n’obwagazi.
Abaami mbeebazizza okutandika emirimu n’amaanyi ageeyolekera mu nteekateeka eya #MmwanyiTerimba ne #LuwaloLwaffe.”