Breaking
News: Bobi Wine erinnya lya Ssentamu lya lugero oluggwayo nti? Ku myaka 64 egyamefuga M7 afuzeeko emeka? News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya etinta era ekyatinta. News: Tubaagaliza olunaku lwamefuga olulungi.
ON NOW Weekend Taxi ▶ UP NEXT Simba Sports 2:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 987 listening Simba FM Live
weekend show photo

On Air

Weekend Taxi

Brenda Nansubuga

12:00 PM - 2:00 PM 12:00 PM - 2:00 PM

Katikkiro ali Sweden

August 22, 2022 · Mubiru Ali
Enkya ya leero, Katikkiro Charles Peter Mayiga alinnye train n’ayolekera e Gothenburg, ekibuga ekiddirira Stockholm mu bunene e Sweden.
Ku lugendo lw’e Gothenburg, Katikkiro abadde n’ekibinja ky’abaweereza b’Obwakabaka okuli; Owek. Prosperous Nankindu Kavuma, Owek. Joseph Kawuki; Owek. Nelson Mugenyi omubaka wa Kabaka e Scandinavia; Owek. Hasifah Nalweyiso; Omuk. David Ntege; Simon Kaboggoza, Kawooya Mwebe, Muky. Allen Namukasa n’abalala.
Ayaniriziddwa Mw. Lameck Kabega,atwala eby’abagenyi ku lukiiko lw’e Scandinavia era nga abeera Gothenburg ng’ali wamu ne Pastor Belton Mubiru, n’oluvannyuma n’alambuzibwa kkampuni ekola emmotoka eza VOLVO.
Olweggulo lwa leero, Katikkiro asuubirwa okusisinkana Bannayuganda ababeera e Gothenburg, ku Backvagen.