Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 259 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

katikkiro akyazizza abakungu okuva mu North caroline

March 15, 2019 · Mubiru Ali

Katikkiro yakyazizza Abakungu okuva mu North Caroline State University mu America, nga bano bakolaganira wamu ne Makerere University mu kunoonyereza amakubo agaleeta enkulaakulana.

Bano baakulembeddwamu Professor Bailian Li, Ssaabalangira Godfrey Musanje ne Dr. Muhammad Kiggundu Musoke owe Makerere University.

Katikkiro yagambye nti mukisa gwamaanyi obwakabaka okufuna abagenyi bebayigirako ate nabwo okubaako byebabuyigirako.
Yagambye nti Buganda erina omulimu munene nnyo okumanyisa abantu ebifa mu Buganda kubanga “bwoba n’ekyomuwendo abantu ne batakimanya naawe kiyinza obutakugasa.

Katikkiro yeebazizza nnyo Ssaabalangira Godfrey Musanje olw’okukyaza abagenyi bano mu kigango ate naabaleeta n’embuga bongere okuyiga ebifa ku Buganda.