Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 367 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Katikkiro akunze abantu okugaba omusaayi

March 30, 2021 · Mubiru Ali
Katikkiro Charles Peter Mayiga akunze abantu okuwaayo omusaayi mu kaweefube agenda mu maaso ku Bulange.
Ategeezezza nti abantu mu biti eby’enjawulo betaaga omusaayi omuli, abakyala abafiira mu ssanya, abagudde ku bubenje, n’abatalya bulungi. Wano wasinzidde nakowoola abantu bajje bagabe omusaayi bataase obulamu bwabali mu bwetaavu.
Okwogera bino Katikkiro abadde asisinkanye Gen. Edward Katumba Wamala bwabadde azze okugaba omusaayi.
Kamalabyonna yebazizza Gen. Katumba Wamala okuwulira omulanga nagwetabamu era nokuwa ekifaananyi eky’omukulembeze omulungi.
Okugaba omusaayi kukomekkerezebwa ku lwakuna olwa Ssabbiiti eno nga 1st April.