Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev. News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 203 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM
News

Kasolo ne banne basingisiddwa omusango gw’obutemu

October 19, 2023 · Mubiru Ali
Kkooti Enkulu mu Kampala esingisizza Abantu 5 omusango gwobutemu obwakolebwa mu 2019. Bano basingisiddwa omusango gwokutta Maria Nagiriinya ne Ddereeva we Ronald Kitayimbwa.
Bano 5 nga bakabinja ka B-13 ekyatigomya nga Abantu mu jam e Nateete. Bano kuliko; Kasolo Compriyam aka Arsenal, Lubega Johnson aka Manomano nabavuzi ba Booda booda Hassan Kisekka, Mpanga Sharif ne Kalyango Nasif.
Omulamuzi Isaac Muwata ategeezezza nti obujulizi obwakeetebwa State Attorney Jonathan Muwaganya ne Timothy Amerit bwayolese bulungi nti bano 5 bateese bulungi nga 29-August-2019 mu Nabisasiro Zone e Lungujja okuwamba n’okutemula Nagiriinya ne Kitayimbwa emirambo gyabwe nebagisuula e Mukono.
Omulamuzi Muwata asinzidde ku bujulizi bwamunaabwe Isaac Ssenabulya aka Kisunsu eyannyonyola Kkooti engeri gyebattamu bano nekigendererwa ekyokubba emotoka ye ekika kya Spacio empya bagikozese mu bubbi obulala.