Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 411 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

kasirye ggwanga akubye emotoka ya kusaasira essasi

January 30, 2019 · Mubiru Ali

Maj. Gen. Kasirye Ggwanga avuddeyo nakuba emotoka ya Catherine Kusaasira amasasi nagyabya omupiira nga alanga abayambi ba Kusaasira okuvuma wamu n’okuwogganira abaana be mu kiro ekikeesezza olwaleero.

Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano SP Onyango agamba nti abaana ba Maj. Gen. Kasirye Ggwanga babadde bagula chips, abayambi ba Kusaasira nebatuuka n’emotoka nga erekaanya ennyimba. Abaana babasabye bakendeeze ku nnyimba zaabwe wabula bano nebagaana nebatandika okubawemula. Bano bakubidde kitaabwe eyatuuse mu bwangu era abayambi ba Kusaasira nebamutegeeza nti tali waggulu w’amateeka.

Kasirye Ggwanga agamba nti Kusaasira bweyazze yatandise kumuleekanira era nga ye okukuba emotoka ye essasi y’abadde agezaako kubatereeza bafune empisa. Ye agamba nti tajja kugenda ku Poliisi kuba ye talina musango gweyakoze.

Poliisi egamba nti yatuuse mu kifo kino era Kusaasira yaguddewo dda omusango ku SD ref. 107/29/1/2019 era nga bonna bakuyitibwa bakole sitiitimenti.