Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matendo etinta tinta ku abiri mu ettaano. News: Chairperson wa UWOPA Agnes Auna avuddeyo nategeeza nga bwatagenda kutiisitiisibwa Kabanda. News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 120 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Kanyamunyu bazzeemu okusaba okweyimirirwa

February 20, 2017 · Mubiru Ali

Omusuubuzi Matthew Kanyamunyu awamu ne banne bwebavunaanibwa, nga bateeberezebwa okubaako kyebamanyi ku kutemulwa kwa Kenneth Akena gyebuvuddeko, bazzeemu nate okusaba okweyimirirwa mu kkooti enkulu mu Kampala.

Kanyamunyu avunaanibwa ne mukulu we Joseph Kanyamunyu wamu ne muganzi we Cynthia Munwangali nga bateeberezebwa okubaako kyebamanyi ku kuttibwa kwa Kenneth Akena eyali akola mu kitongole ky’obwa nnakyewa mu Disitulikiti y’ e Kasese .

Abantu bank baasooka kusaba kweyimirirwa ย nga 10, Gatonnya omwaka guno mu kkooti y’emu mu maaso g’omulamuzi Elizabethan Kabanda nga ono yagaana okubakkiriza okweyimirirwa ng’agamba nti ensonga kwebaali basinziira okusaba okweyimirirwa tezaali za ssimba.

Wabula agava mu nsonda ezeesigika gagamba nti bano baalikomezebwawo mu kkooti ssabbiiti ejja.