Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 230 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Kantinti ayozaayozezza Bobi Wine

July 4, 2017 · Mubiru Ali

Apollo Kantinti eyakwatira FDC bendera  okuvuganya ku kifo ky’omubaka mu Palamenti mu kalulu ka Kyaddondo ey’obuvanjuba akaakaddibwamu ssabbiiti ewedde, avuddeyo n’ayozaayoza Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine olw’okuwangula akalulu kano.

Kantinti bw’abadde eyogerako eri ab’amawulire ku yafeesi ye e Kasangati, ategeezezza nti mweteefuteefu okukolera awamu ne Bobi Wine era amwanjulire n’ezimu ku  zi pulojekiti zeyali ateereddewo abalonzi mu kitundu kino .

Wabula bw’abuuziddwa kyazzaako oluvannyuma lw’okuba nti yawangulwa mu kalulu, n’ategeeza nti agenda kwongera okwegatta ku bannabyabufuzi abavuganya Gavumenti okufuba okuzzaawo enfuga ennungu mu gggwanga .