Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing · 108 listening Simba FM Live
News

Kansala eyakunga abavubuka okulemesa eyesimbyeewo okwewandiisa asindikiddwa ku alimanda

July 8, 2023 · Mubiru Ali
Akakiiko akalwanyisa obuli bw’enguzi n’obukenuzi okuva mu maka g’omukulembeze w’Eggwanga aka Anti Corruption Unit – State House Uganda nga kakolera wamu ne Uganda Police Force bakutte Kkansala Dan Malinga owa Bukedea Town Councillor n’asimbibwa mu Kkooti ku bigambibwa nti yakunga abavubuka ab’effujjo era n’abakulemberamu okukola effujjo ku Omagor Steven omu ku baali besimbyewo mu kalulu k’okujjuza ekifo kya Ssentebe wa Disitulikiti y’e Bukedea.
Effujjo lino balikola nga 6 June, 2023, bwebalumba ggeeti ya offiisi y’Akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde aka Independent Electoral Commission Uganda ez’e Bukedea, Omagor Steven bweyali agenze okwewandiisa n’ekigenderwa ekyokumulemesa okwewandiisa avuganye.
Kiddiridde ekiwandiiko kya Pulezidenti kyeyayisa gyebuvuddeko nga ayagala bonna abenyigira mu mivuyo gino bakwatibwe. Malinga asindikiddwa ku alimanda mu kkomera okutuusa nga 26 omwezi guno.