KANAABE NAYE AKWATIDDWA POLIISI

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Uganda Police Force evuddeyo netegeeza nga bwekutte omuntu ow’okubiri agambibwa okuba nti yomu kubagezaako okutta Gen. Edward katumba Wamala wabula amasasi negakwata muwala we Brenda Nantongo ne Ddereeva we Sgt. Haruna Kayondo negabattirawo.
Akwatiddwa kitegeerekese nti Kanaabe nga kigambibwa nti yeyavuga Walusimbi Kamada aka Mudinka okumuggya e Kisota.
Kigambibwa nti Kanaabe akwatiddwa mu kiro ekikeesezza olwaleero.
Okukwatibwa kwa Kanaabe kuzze nga wakayita ssaawa mbale nga Kkooti Enkulu mu Kampala eragidde Gavumenti okuleeta ‘Death Certificate’ zaabo abattibwa okuli Lubwama n’abalala 3 oba ebifaananyi byabwe.
Omulamuzi Musa Ssekaana okuwa ekiragiro kyavudde ku Munnamateeka wabakwate Geoffrey Turyamusiima okusaba Poliisi obujulizi obulaga nti ddala abantu be battibwa abebyokwerinda.
Share.

Leave A Reply