Kaliisoliiso wa Gavumenti Irene Mulyagonja, akyaliddeko Katikkiro Charles Peter Mayiga mu Bulange okulaba engeri ebitongole byombi gyebiyinza okukolaganamu okulwanyisa obukenuzi n’obuli bw’enguzi.
ย
Katikkiro asabye abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo okuwagira okulwanyisa obukenuzi n’obuli bw’enguzi bayambeko omulamuzi Irene Mulyagonja okutuukiriza ebigendererwa by’okulwanyisa enguzi.
ย
Omulamuzi Mulyagonja agambye nti abantu ba Uganda balina okutegeeslzebwa ensimbi zaabwe engeri gyezitambulamu n’engeri gyezibbibwamu wamu n’ebyo ebizingamya emirimu okusobola okuleetawo obwerufu.


