Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Neyimbira Byange 2026 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing · 838 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Wooto Walusimbi - Nampala Yusuf

Evening Sports 8:00 PM - 9:00 PM

kalantiini y’ennyama eri mu disitulikiti 2 – Minisita

December 14, 2018 · Mubiru Ali

Oluvannyuma lw’abalimi n’abalunzi okwemulugunya ku nkola ya Gavumenti ku kalantiiini, Omubeezi wa Minista ow’eby’obulimi n’obulunzi, Joy Kabatsi, abawadde essuubi ku kukendeeza ku bukambwe.
Bino byabadde ku Imperial Royale mu lukiiko lw’okusomesa abalimi engeri y’okulundamu ente z’ennyama.
Kabatsi agamba nti ekizibu kya kalantiini kiri mu Disitulikiti bbiri okuli Bukanga ne Isingiro n’agamba nti Gavumenti okussaawo kalantiini yali egenderedde kulwanyisa abasuubuzi abakukusa ennyama okuva mu mawanga amalala nga bamenya amateeka agaateekebwawo ku nnyama.
Minisita era yasuubizza n’abalunzi nti Gavumenti egenda kuggyawo enkola y’okuleka buli muntu atunde eddagala ly’ebisolo kuba kino kye kiviiriddeko eddagala effu okweyongera ku katale ekifiirizza abalunzi.