Breaking
News: Moses Bekabya yalimba ngamaze nokukuba ebirayiro ngakutte ekitabo ekitukuvu! News: Ekimotoka kyenkokoto ekya Hardware World kyabuddeko mixer neggwa eri olunaku lweggulo! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 279 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Kakweza asimbiddwa mu Kkooti

January 21, 2022 · Mubiru Ali
Omuwandiisi Kakweza asimbiddwa mu Kkooti ngayita ku nkola ya zoom. Ono aleese Ssaabawandiisi wa National Unity Platform David Lewis Rubongoya ngomu ku bamweyimirira kuba babeera ku kyalo kimu.
Munnamateeka we Eron Kiiza ategeezezza Omulamuzi Douglas Singiza nti Kakweza yatulugunyizibwa nga era agenda awona okusinziira ku alipoota y’ekkomera.
Ono ayongeddeko nti omuntu we alina eddembe okufuna obujanjabi okuva mu Ddwaliro lyayagala.
Resident State Attorney Joan Keko ategeezezza Kkooti nga bwebakyakola okunoonyereza nti singa Kakweza ayimbulwa yanditaataganya okunoonyereza kuba akyasobola okukozesa twitter ye.
Keko agamba nti wadde alipoota eraga nti Kakweza alina enkovu eziwona mu mugongo naye teraga yabifuna atya. Bongeddeko nti bwaba wakuyimbulwa ku kakalu ka Kkooti kabeera ka ssente zabuliwo, aweeyo ppaasippooti ye era agaanibwe nokwogera ku musango okutuusa nga guwedde.
Omulamuzi amugaanye okweyimirirwa okutuusa ku lwokubiri wiiki ejja.