Kakwenza avunaaniddwa okutaataganya eddembe lya Pulezidenti Museveni ne Gen. Muhoozi

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Okusinziira ku Uganda Police Force, omuwangiisi w’ebitabo Kakwenza Rukirabashaija avunaaniddwa olunaku olwaleero mu Kkooti ya Buganda Road nasindikibwa ku alimanda mu kkomera e Kitalya okutuusa nga 21-Janaury.
Avunaaniddwa emisango okuli okukozesa olulimi oluvuma ekyaviirako okutaataganya eddembe lya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni nga ayita ku mukutu gwe ogwa twitter wamu n’okukozesa olulimi oluvuma ekyaviirako okutaataganya eddembe lya Lt. Gen. Muhoozi Kainerugaba.
Share.

Leave A Reply