Kakensa Ssentamu aliko ensako z’abasomesa z’awakanya mu Makerere

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Eyaliko omumyuka wa Ssenkulu wa Ssettendekero wa Makerere, Kakensa John Ddumba Ssentamu agamba nti aliko ensako zaatawagira okubeera nga ziweebwa abasomesa mu Ssettendekero e Makerere era nga neweyabeerera mu yafeesi yali tawagira nsako zino

Kakensa Ssentamu eyawaayo obuyinza gyebuvuddeko eri Kakensa Barnabas Nawangwe agamba nti ensako zino tezisoboka kuyimirizikawo okusinziira ku nfuna eya ssettendekero.

Mu nsako zino mwemuli, ¬†ensimbi eziweebwa abasomesa kasita baba nga bakoze emirimu nebasukka mu budde obwa bulijjo oba nga baliko emirimu gyebakoze egitali egyo gyebateekwa okukola buli lunaku era nga muno mwemuli n’okusomesa ku nkola ey’akawungeezi wamu ne ku nkomerero ya ssabbiiti.

Ssentamu awadde olukiiko lwa University Council amagezi okuddayo ku nkola enkadde baddeyo mu bitongole eby’enjawulo ebisomesezebwamu amasomo agatali gamu okulaba oba nga bayinza okufuna eyo ensimbi nebabaako ennyongeza zebawa abasomesa.

 

Share.

Leave A Reply