Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matendo etinta tinta ku abiri mu ettaano. News: Chairperson wa UWOPA Agnes Auna avuddeyo nategeeza nga bwatagenda kutiisitiisibwa Kabanda. News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 152 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM
News

Kaggwensonyi yagandigidde ku wokutaali e Kayunga

July 5, 2023 · Mubiru Ali

Amawano gagudde ku mu muluka gwe Kamusabi mu Kitimbwa Archdiocese mu Disitulikiti y’e Kayunga omusajja omufumbo bwakwatiddwa lubona mukyala we ngayesa empiki z’omukwano ne muganzi we ku wolutaali ya Bugonya Church of Uganda.

Najama Nasisege 21, yakutte bba Thomas Ndabalola 22 lubona ku wolutaali y’ekkanisa ku ssaawa bbiri ezekiro nga bamugabira ebyalo.

Najama yatiisizzatiisizza okunoba nga agamba nti kino kisusse era tasobola kukiguminkiriza. Ye Omubuulizi w’ekkanisa eno Aron Komugisha avuddeyo nategeeza nga bwatagenda kuddamu kulinnya mu kkanisa eno okutuusa nga bagitukuzza okuyita mu kusaba wamu n’okusiiba kuba bano obukeeka babwesonedde ku wolutaali ya Mukama.

Bbo abakiriza baagala Ndabalola adaabirize entebe zeyamenye wamu n’eddinisa lyabamenye nga badduka.

Wabula bano bagamba nti guno sigwegusoose, babadde nga basangamu obupiira bu kakuuma bulamu obukozeseddwa.