Breaking
News: Chairperson wa UWOPA Agnes Auna avuddeyo nategeeza nga bwatagenda kutiisitiisibwa Kabanda. News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe News: Abanoonyi bobuddamu bakedde kwekalakaasiza ku kitebe kyAmawanga amagatte ekivunaanyizibwa ku banoonyi bobuddamu ekya United Nations High
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing · 298 listening Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM

Kadaga yeeyamye okuyamba amatendekero g’ebyemikono

June 30, 2016 · Mubiru Ali

Sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga yeeyamye okuyambako okusaba Gavumenti eweeyo emmotoka eziwedde ku mpagala eri amatendekero g’ebyemikono abayizi bazikozese mu kusoma kwabwe  .

Obweyamo buno Kadaga abukoledde ku mukolo gw’abaddeko omugenyo omukulu ogw’okuggulawo Galagi mu ttenedekero lya St.  Joseph’s Vocational Training Centre erisangibwa e Kamuli.

Sipiika agamba yawandiikira aba Minisitule y’ebyobulamu ku nsonga y’emmotoka enkadde ezitakyakola ng’ayagala zisindikibwe mu matendekero g’ebyemikono zeeyambisibwe abayizi mu kusoma kwabwe.

Sipiika ate nga mubaka omukyala owa disitulikiti ye Kamuli ayongerako nti agenda kukwatagana ne Police alabe nga bafuna ku mmotoka eziremera ku Police oluvannyuma lw’obubenje.

Wabula Sipiika akubirizza abaana abawala okwenyigira mu masomo g’ebyemikono omuli okukanika emmotoka, okuvuga wamu n’ebyobulimi..