Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 602 listening Simba FM Live

Kadaga ye Sipiika wa Palamenti eyekkumi

May 19, 2016 · Mubiru Ali

Ababaka ba Palamenti abaakalayizibwa babukeerezza nkokola okweyuna Palamenti okulonda anaakubiriza olukiiko lwa Palamenti wamu n’omumyuka we.

Kadaga ayiseewo bulambalamba nga tavuganyiziddwa era nga ekitundu ekisoose ekyokulonda kikubiriziddwa amyuka Ssaabalamuzi Stephen Kavuma era y’alangiridde Rebecca Alitwala Kadaga ku bukubiriza bwa Palamenti ey’omulundi ogw’ekkumi.

Wabula wabadde ebbugumu nga omubaka wa Budadiri Nathan Nandala Mafabi awakanya ekya Pulezidenti Museveni okuba mu Palamenti nga balonda Sipiika,omulamuzi Kavuma kyeyeebalamye naagenda mu maaso n’okulangirira Kadaga era bwatyo naalayizibwa.

Wabula oluvannyuma lw’ekitudu ekyo okugenda obutooke, Kadaga abakaniddewo n’ogwokukubiriza okulonda agenda okuba omumyuka we nga embiranye eri wakati wa Muhammad Nsereko ne Jacob Oulanya.