Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 249 listening Simba FM Live

Kadaga ayiseemu avuganye kubwa Sipiika, Oulanya bumyuka

May 5, 2016 · Mubiru Ali

Rebecca Alitwala Kadaga ayiseemu ku bwa Sipiika nga tavuganyiziddwa . Kino kizze oluvannyuma lw’enteeseganya ezibaddewo  wakati wa bombi ne Pulezidenti Museveni mu maka g’obwa Pulezidenti  e Ntebe .

Ababaka ba Palamenti  abali mu kabondo ka NRM babadde bagenze e Ntebe  okukuba akalulu ku Kadaga ne Oulanya  ani atwala ekifo ky’obukubiriza bwa Palamenti yomwenda . Oluvannyuma lwokukkaanya Kadaga ayiseewo bulambalamba  kati Oulanya aggya ku bumyuka bwa Sipiika avuganye n’abalala omuli Nsereko Muhammad , Jacob Oboth Oboth n’abalala .