Breaking
News: Abantu abamu embezzi mugirya lwakugiwoomerwa, nze ngirya lwakwesasuza – Amos Mukhwana News: Ssaabawandiisi wa National Unity Platform David Lewis Rubongoya avuddeyo nategeeza nga abebyokwerinda nga bakulembeddwamu Eggye lya UPDF ssaako ne News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matendo etinta tinta ku abiri mu ettaano.
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 107 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Kadaga ayimirizza okukubaganya ebirowoozo ku nsonga ya Bodaboda 2010

January 30, 2018 · Mubiru Ali

Omukubiriza w'olukiiko olukulu Olw'eggwanga Rebecca Alitwala Kadaga ayimirizza okukubaganya ebirowoozo ku nsonga ya Bodaboda 2010 eyali erekeddwa mu ddiiro naddala mu nzirukanya yaazo mu kibuga Kampala. 

Kadaga agamba nti ssikirungi Palamenti kukubaganya birowoozo ku nsonga eno nga ate ebitongole ebikola ogw'okunoonyereza ate nga waliwo n'emisango egigguddwa ku bantu bano mu kkooti. 

Kinajjukirwa nti mu Museenene w'omwaka oguyise,  Palamenti yali etandise okukkiriza ekiteeso ekyali kireeteddwa omubaka wa Bunya East,  Woira Majegere okutandika okunoonyereza ku ngeri aba Bodaboda gyebakkakkalabyamu ebyabwe nga kigambibwa nti abantu bano bavujjirira ebikolwa eby'obumenyi bw'amateeka .