Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa?
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 151 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Kadaga ayagala Ambulance zookumazzi

November 21, 2016 · Mubiru Ali

Omukubiriza w’olukiiko olukulu olw’eggwanga, Rebecca Alitwala Kadaga azzeemu n’attukiza kaweefube w’okusaba Ambulance zoku mazzi okusobola okutaasa obulamu bw’abakyala abasulirira okuzaala naddala abali mu bizinga .

Bino abyogedde n’agamba nti mu myaka esatu yategeeza Pulezidenti Museveni naye Gavumenti neyeefuula nampulira zzibi ekiteeka obulamu bwa ba nakazadde mu katyabaga.

Sipiika bino abyogedde bwabadde aggulawo omusomo ogwetabiddwamu ababaka mu Palamenti ย nga bateesa ku nsonga ezeekuusa ku bakyala , abaana awamu n’abavubuka.

Ye eyaliko omubaka mu Palamenti owa Buyikwe ey’amaserengeta nga yaweerezaako abantu b’e Buvuma, Dr. Lulume Bayiga agamba nti kyennyamiza okuba nga ba maama abali ku kizinga baavu lunkupe nga tebalina busobozi bwetuusaako bujjanjabi .