Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Emboozi Kafunda Live ▶ UP NEXT Olutindo 7:00 PM - 8:00 PM
Now Playing · 291 listening Simba FM Live
emboozi show photo

On Air

Emboozi Kafunda Live

Kalebule

6:00 PM - 7:00 PM 6:00 PM - 7:00 PM

Kadaga avuddeyo ku musolo oguli ku bintu ebikozesebwa abakyala n’abaana

June 13, 2017 · Mubiru Ali

Akubiriza olukiiko olukulu olw’eggwanga,  Rebecca Alitwala Kadaga alabudde Minisitule evunaanyizibwa ku byensimbi nti ereme kuddira nga ebintu ebimu ebikozesebwa abakyala n’abaana okubibinika omusolo .

Kadaga ategeezezza Minisita omuwanika Kasaija nti waliwo entalo zabalwanye okumala ebbanga  gamba nga okuggya omusolo ku mazzi, ebintu ebikozesebwa abakyala bwebaba bafumbiddwa Musoke n’ebirala ebigwa mu kkowe lino emyaka esatu egiyise naye oluusi nekitamubeerera kyangu nnyo.

Bino byonna ebyogedde bwabadde ng’ali mu kutongoza enteekateeka ekwata ku by’ekikula ky’abantu n’enkola yaayo ku yafeesi ya Minisitule y’ebyensimbi mu Kampala.

Minisita bino olumugudde mu matu n’asaba ekisonyiwo wabula n’agamba nti ekitongole ekivunaanyizibwa ku nsonga z’ebyomusolo ekya URA ne Minisitule y’ebyensimbi abakozi baabyo baalemererwa okuzuulayo ebintu ebirala ebiyinza okuggyibwako emisolo.