Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 1,517 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Kadaga atadde Oboth ku nninga ku ky’ebisanja n’okuzza ekisanja ku myaka 7

December 19, 2017 · Mubiru Ali

Olukiiko olukulu olw'eggwanga nate leero luzzeemu okukubaganya ebirowoozo ku Alipoota y'akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa mu by'amateeka ekwata ku bbago erigendererwamu okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti . 

Wabula ekitundu ekisoose oky'okuteesa kwa Palamenti kitutte nnyo obudde nga ababaka beebuuza wa akakiiko  kano gyekaggya obuyinza okuteeka ensonga y'okuggya ekkomo ku bisanja kya Pulezindenti ate n'okuseetula emyaka etaano ekisanja gyekimala okudda ku myaka omusanvu (7) era bw'atyo sipiika n'ateeka ssentebe w'akakiiko kano ku nninga Jacob Oboth Oboth annyonnyole ku kino.