Breaking
News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing · 292 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Kadaga asabye alipoota ku kuttibwa kw’abakyala mu Wakiso

August 29, 2017 · Mubiru Ali

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Alitwala Kadaga asabye Minisitule etwala ensonga zoomunda mu ggwanga awamu ne Police okuvaayo ne alipoota ekwata ku bakyala abazze batirimbulwa mu Munisipaali y’e Ntebe awamu ne Nansana nga bino byombi biri mu Disitulikiti y’e Wakiso .

Agamba nti mu Lwokubiri lwa ssabbiiti ejja Palamenti lweddamu okutuula okuva mu luwummula basuubira nti alipoota eyo okuba nga enaaba  ewedde .

Kadaga asabye Gavumenti okufuba okulaba nga ekola butaweera okulaba nga obuzigu buno buggwawo. Avumiridde engeri abakyala gyebatirimbulwamu ey’okusooka okubakaka akaboozi k’ekikulu ate nebabafumita ebiti mu bukyala.