Breaking
News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing · 1,232 listening Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM

Kadaga alangiridde okuzimba eddwaliro ky’ekikulukuto

September 5, 2017 · Mubiru Ali

Palamenti y’eggwanga lyattu Yuganda egamba nti eri mu nteekateeka ez’okuzimba eddwaliro ery’etongodde erigenda okujjanjaba ekirwadde ky’ekikulukuto (Fistula) .

Enteekateeka eno yalangiriddwa Sipiika wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga nga yasinzidde mu lukungaana lwa Bannayuganda abali mu kitundu eky’obukiika kkono bwa America (UNNA)  olwatudde e Miami Florida.

Kadaga yagambye nti oluusi abantu banenya Palamenti olw’okutinddigga engendo n’ egenda okwetaba mu lukungaana nga luno naye ate kino kiyamba kubanga eno basakayo obuyambi okuzimba amalwaliro ate n’okuyambako mu bizibu by’eggwanga  ebitali bimu.

Eddwaliro lino ligenda kuzimbibwa mu bitundu by’e Soroti .