Breaking
News: Omusirikale wa Uganda Police Force ngakolera mu kitongole kya Flying Squad mu Albertine Regional Police Headquarters eyakwatibwa ku katambi nga News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya yo tegaana kutinta nokuyigiriza ne leero ekiro ku nnya lindirira Abakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Moses Bekabya yalimba ngamaze nokukuba ebirayiro ngakutte ekitabo ekitukuvu!
ON NOW Olutindo ▶ UP NEXT Simba Sports 8:00 PM - 9:00 PM
Now Playing ยท 567 listening Simba FM Live
olutindo show photo

On Air

Olutindo

Peter Kibazo - Evans Walusimbi

7:00 PM - 8:00 PM 7:00 PM - 8:00 PM
News

Kabaka si mulwadde muyi – Katikkiro

June 18, 2024 · Mubiru Ali
Katikkiro Charles Peter Mayiga; “Leero nga 18 Ssebaaseka 2024, tufunye ensisinkano ey’enjawulo mu Bulange ku nsonga enkulu ekwata ku Ssaabasajja Kabaka.
Ensisinkano eno ebaddemu Katikkiro, Olulyo Olulangira Abataka Abakulu Ab’obusolya ne Baminisita.
Tusaanye tujjukire nti Ssaabasajja ye Kitaffe era okukira ku bantu abalala bonna, Ssaabasajja talingirizibwa, amawulire agakwata ku bulamu bwe tegafulumizibwa mu ngeri eweebula kitiibwa kye nga Kabaka oba okutyoboola eddembe lye ery’obuntu.
Kyokka kikulu nnyo Obuganda okumanya nti Kabaka ssi mulwadde muyi era tali ku ndiri, awo nno tubeere bagumiikiriza era twongere okusabira Nnyinimu Katonda ayongere okumussuusa.”