Breaking
News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Akawungeezi ka leero ŋŋenzeeko mu maka gomugenzi Alex Mukulu, okukubagiza abenju nabooluganda olwokuviibwako News: Olutindo -Kakande- Kivumbi tanatereera. Balaam tamanyi kyakola, kati awoze order mbu yali advise. News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Tukulinze
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 411 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Justin Jjuuko avunaaniddwa gwakutendeka bayekera

December 30, 2020 · Mubiru Ali
Omukubi w’ebikonde Justin Juuko yasimbiddwa mu Kkooti ya UDC etuula ku kitebe kya CMI e Mbuya nga empapula ziraga nti yavunaaniddwa nga 22-December-2020.
Jjuuko okukwatibwa bamujja Kyazanga ne Garry Paul Mayanja nga bombi Bannakibiina kya Forum for Democratic Change – FDC nga bebavunaanibwa kukunga abantu mu bitundu by’e Masaka.
Wabula ye Mayanja yayimbulwa okuva ku SIU e Kireka gyebaali bakuumirwa.
Bannamateeka ba Jjuuko badukidde mu Kkooti Enkulu ku Twed Tower, era Omulamuzi Musa Ssekaana yayisizza ekiragiro ateebwe wabula Mark Muwonge eyakiikiridde Ssaabawolereza wa Gavumenti yategeezezza Kkooti nti Jjuuko babadde tebasobola kumuta kuba yabadde amaze okuvunaanibwa.
Jjuuko yavunaaniddwa okutendeka abavubuka mu bikolwa by’ekiyeekera wamu n’okusangibwa n’emmundu.