Jamilu Mukulu eyali akulira ekibinja kyabayekera ekya ADF alabiseeko n’abalala 37 mu maaso g’omulamuzi wa Kkooti ya International Crimes Division court Eva Luswata

Jamilu Mukulu n’abalala 37 nga kuno kuliko n’abakyala bavunaanibwa emisango okuli obutujju, obutemu, okutulugunya abantu, wamu.

Kigambibwa nti bano bandiba nga baalina omukono muttemu ly’abayizi ba Kichwamba Technical institute mu 1998, okutemulwa kw’aba Sheik wakati wa 2015 – 2016 wamu n’abasirikale ba Poliisi babiri e Bugiri ku Poliisi mu Busoga.

Bano bavunaanibwa okugezaako okumamulako gavumenti nga basinziira mu nsozi za Rwenzori nga era balina enkambi mu bibira bye Congo.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Besigye asambazze ebyogerwa nti yagamba taddamu kwesimbawo.