Breaking
News: Minisita avunaanyizibwa ku byentambula nenguudo Hon. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Nsisinkanye abaami beggombolola okuva mu masaza ga Buganda, twogedde ku nsonga ezenjawulo naddala engeri gye News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo wano e Bukoto ku Simba.
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing · 172 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Jam atusubya akaboozi ko kumakya – Hon. Oboth

September 20, 2019 · Mubiru Ali

Omubaka akiikirira Budama South Jacob Oboth Oboth yavuddeyo olunaku lw’eggulo nakandula eddoboozi ku kalipagano k’emotoka ku luguudo Kampala – Kireka – Mukono; “Akalipagano k’emotoka ku luguudo lwa Kireka-Mukono nako kafuuse kamu ku bukodyo bw’enteekateeka y’ezzadde. Bwoba tonazaala tewetantala kusula ku luguudo lw’e Mukono. Abantu tebanyumirwa kaboozi ka kumakya ‘Morning Glory’ kuba bakeera nnyo okusobola okwewala akalipagano. Olaba nakekiro bakalunga mu mindi olw’akalipagano akawungeezi.”
“Twagala Minisitule y’ebyensimbi etunnyonyole oba nga kano kakodyo kagenderere okulemesa abantu okuzaala. Lwaki mutuyisaamu amaaso? Nkola ki eno eya Family Planning ereka abantu n’enyonta y’omukwano? Twetaaga oluguudo lwa Kampala Expressly Highway lukolebwe mu bwangu. Bwemuba mwagala ku kendeeza muwendo gw’abantu abava ebuvanjuba mutubuulire.”