Breaking
News: Olutindo -Kakande- Kivumbi tanatereera. Balaam tamanyi kyakola, kati awoze order mbu yali advise. News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Tukulinze News: Shakirah Namutebi nga wa myaka 24, yakwatiddwa Uganda Police Force nga kigambibwa nti asangiddwa ne ttivvi enzibe.
ON NOW Emboozi Kafunda Live ▶ UP NEXT Olutindo 7:00 PM - 8:00 PM
Now Playing · 301 listening Simba FM Live
emboozi show photo

On Air

Emboozi Kafunda Live

Kalebule

6:00 PM - 7:00 PM 6:00 PM - 7:00 PM

ISO ekutte emotoka 5 enzibe

August 5, 2019 · Mubiru Ali
Ekitongole kya Internal Security Organization – ISO nga kiri wamu n’eggye lya Uganda Peoples Defense Forces – UPDF byavuddeyo nebikola ekikwekweto mu ttawuni y’e Lira ne Soroti okuyigga ababbi b’emotoka. Kino kyaddiridde abantu okwemulugunya ku bubbi bw’emotoka obususse mu bitundu ebyo.
Mu kikwekweto kino bazuuliddemu emotoka 5 enzibe nga kuliko; Toyata Premio UAT 702E (grey) nga kigambibwa nti yabibbwa Gulu, Toyota Noah nnamba UBD 141K (dark blue) nga yabibbwa okuva mu Disitulikiti y’e Amuru, Premio UAX 651Y, Noah UAR 593T ne Super Custom.
Emotoka 3 ku zino zagiddwa Soroti n’endala 2 nezisangibwa e Lira. Abantu abawerako bakwatiddwa era nga babalinze okwogera wa gyebazitunda era batya. Mu bebakutte kuliko azuula emotoka enabibbwa wamu n’oyo anoonya akatale.