Breaking
News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso.
ON NOW Lutaba Njaliire ▶ UP NEXT Awali Omukka 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing Simba FM Live
lutaba show photo

On Air

Lutaba Njaliire

Mubiru Ali

4:00 PM - 8:00 PM 4:00 PM - 8:00 PM

Isiko bamuwadde bail

August 3, 2018 · Mubiru Ali

Brian Isiko 25, omuyizi ku YMCA eyasalirwa emyaka 2 mukomera olwokukana omubaka omukyala ow’e Kabarole Sylvia Rwabogo olunaku olwaleero aweereddwa bail mu kkooti enkulu.

Omulamuzi Jane Francis Abodo atadde Isiko ku kakalu ka Kkooti akobuliwo ka mitwalo attaano (500,000/=) nabamweyimiridde ababiri ne basasula obukadde butaano (5,000,000/=) era nabalagira okulaba nti Isiko akomawo mu Kkooti okumaliriza omusango ggwe.

Omulamuzi Abodo alagidde Isiko okulanikako ewa Deputy Registrar owa Kkooti enkulu buli lwakutaano olw’okusatu mu mwezi era nti taddamu okukubira oba okusindikira omubaka Rwabogo obubaka bwonna.

Omulamuzi agamba nti ensonga kwasisinzidde okutta Isiko eri nti gwemulundi gwe ogusoose okuzza omusango ate nga aleese nabamweyimirira nga balina erinnya n’emirimu egitegerekeka nga ku bano kuliko munamaggye wa UPDF eyawumula Capt. Reagan Muganza ne Godfrey Waako nga ono Assistant Registrar wa Kyambogo University.