Isiko asabye okweyimirirwa

Omulamuzi wa Kkooti enkulu Jane Francis Abodo alonze olwa 3-August okuwa ensala ye ku kusaba bail kwa Brian Isiko omuvubuka eyasingisibwa omusango gw’okukana Omubaka Omukyala owa Kabarole Sylvia Rwabwogo.

Isiko nga ayita mu Bannamateeka aba Katuntu & Co advocate awakanya okusalawo kw’Omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road ow’eddaala erisooka Gladys Kamasanyu nga agamba nti yamusaliriza kuba omusango gweyazza tegwalimu kulumya muntu.

Isiko agamba nti muyizi era nga yetaaga okuddayo ku ssomero amalirize emisomo gye era nga alina n’abasobola okumweyimirira okuli Wako Godfrey Assistant academic Registrar wa Kyambogo University ane Β Lieutenant Reagan Muganza Coordinator wa UPDF Reserve Force owa Greater Mukono.

Brain Isiko 25, omuyizi ku YMCA College of Business Studies yasingisibwa omusango gw’okukuba essimu wamu n’okuweereza obubaka obusaba omukwano omubaka wa Kabarole Omukyala , Sylvia Rwabwogo.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

Top Reviews

More Stories
Omubaka Allan Ssewanyana azirikidde e Busaabala