Breaking
News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu! News: Minisita avunaanyizibwa ku byentambula nenguudo Hon. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Nsisinkanye abaami beggombolola okuva mu masaza ga Buganda, twogedde ku nsonga ezenjawulo naddala engeri gye
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 365 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

IRCU enenyezza Poliisi olwokukwata Bobi Wine ne Amuriat

November 19, 2020 · Mubiru Ali
Bannaddiini abegattira mu Kakiiko akataba enzikiriza ez’enjawulo mu Yuganda aka Inter-Religious Council of Uganda(IRCU) bavuddeyo nebasaba Gavumenti okuyimbula Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Winen’abalala abakwatiddwa. Bano era bavumiridde ebikolwa eby’okutulugunya abantu ebyakoleddwa ebitongole by’ebyokwerinda.
Akulira akakiiko kano Mufti Sheikh Shaban Ramathan Mubajje agambye nti Bobi Wine ne Patrick Oboi Amuriatbwebaba nga bazizza omusango gwonna batwalibwe mu kkooti ebavunaane.
Basabye Akakiiko k’ebyokulonda wamu n’ebitongole by’ebyokwerinda okussa ekitiibwa mu ddembe ly’obuntu nga bwebirambikibwa mu Ssemateeka w’eggwanga.
Bagamba nti Uganda Police Forcenayo yamenye ebiragiro (SOPs) ebya COVID-19 ebiri mu kawayiro aka 21(3) akagamba nti Poliisi ejja kulumirirwa eggwanga, bajja kukozesa obukugu n’ebirala.
Bakubirizza abasirikale okugoberera Ssemateeka wa Yuganda nga bakola emirimu gyabwe era bakozese obwenkanya nga balamula Bannayuganda nga tebafuddeyo ku kibiina kye bawagira.