IGP Ochola aloonze akulira ‘Flying Squad’ omupya

Omuduumizi wa Poliisi Martins Okoth Ochola alonze omuduumizi w’ekitongole kya Poliisi ekya ‘Flying Squad’ ekirwanyisa obubbi obw’emmundu mu ggwanga omuggya. Wabadde wakayita omwezi gumu gwokka nga alangidde eyali akikulira Herbet Muhangi wamu nebeyali akulira okugenda ku kitebe kya CID e Kibuli era nebasabibwa okuddamu okusaba emirimu bupya basunsulibwe.

Olunaku lw’eggulu IGP Ochola yalonze D/SSP Peter Kakonge okukulira ekitongole kya ‘Flying Squad’ nga ono abadde akola nga mbega ku kitebe kya CID e Kibuli.

Ochola era yayongedde nakyuusa bambega abalala okuli D/ACP Isaac Oketcho nga ono abadde akola ku mu kitongole kya ‘Media Crimes’ ku CID headquarters natwalibwa ku Special Investigations Department (SID) e Kireka nga Acting ACP Commercial Transactional crimes.

D/SSP Peter Muwonge yagiddwa ku CID headquarters natwalibwa atendeke bambega ate Hosea Manyindo yagenda okukulira ‘Media Crimes’.

D/SSP Okello Obura yagiddwa ku CID headquarters e Kiira police nga Regional CID Officer ate D/SSP Sulaiman Kabuye yakomezeddwawo natwalibwa e Rwenzori nga Regional CID Officer.

D/SP Willy Kalimbano yagiddwa e Kiboga natwalibwa ku Railway Police nga Regional CID Officer.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
omulamuzi agaanye okuwa kiconco ekiragiro ekigaana ab’omu lusanja okuzimba