Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

IGP alagidde CID okunoonyereza mu bwangu ku ttemu ly’aba Boda Boda

Omuduumizi wa Poliisi IGP Okoth Martin Ochola avuddeyo nalagira Director wa CID Grace Akullo okusindika basajja be e Kasese ne Butambala banoonyereze ku ttemu lyaba Boda Boda abasatu abatiddwa ku nkomerero ya wiiki ewedde.
Omwogezi wa Poliisi Fred Enanga agamba nti Tumusiime Francis ne Kyoya Ronald bafumitibwa ebiso ebyabattirawo e Kasese ate ye Ssenzira John Alez yatugibwa e Butambala.
Poliisi ekubiriza abavuzi ba Boda Boda okubeera obulindaala nga bwekola okunoonyereza.

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort