IGP akoze enkyuukakyuuka mu ba DPC ne ba RPC

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Omuduumizi wa Poliisi mu Uganda akoze enkyuukakyuka mu Poliisi era abasirikale ba Poliisi 54 bakyuusiddwa okwetoloola eggwanga. Abadde DPC wa CPS mu Kampala ASP Josepgh Bakaleke Gwaido akyuusiddwa natwalibwa e Kiryandongo nga DPC.
Superintendent of Police, Jackson Mucunguzi, eyali akulira Poliisi ya Makerere University nga abadde ku misomo atwaliddwa ku Poliisi ya Jinja Road nga DPC era nga ono azze mu kifo kya SP Eliau Osega atwaliddwa e Lamwo. who was formerly in charge of Makerere university police station and has been on course has been transferred to Jinja road police station as the DPC to replace Superintendent of Police Eliau Osega who has been transferred to Lamwo.
SSP Samuel Bamuzibire nga ono abadde mu Field Force Unit alondeddwa nga Commander wa 999 System, Bamuzibire ye yali akulira FFU mu Kampala wabula mu 2016 y’omu ku basirikale abagibwako amayinja oluvannyuma lw’akakiiko akakwasisa empisa mu Poliisi okubasingisa omusango gw’okukuba abawagizi ba Dr. Kizza Besigye.
SSP Peter Nkulega agiddwa e Rwenzori natwalibwa mu North Kyoga nga RPC ate ye SP Moses Ekudot nga abadde ku misomo atwaliddwa mu Apac nga DPC.
Share.

Leave A Reply