Breaking
News: Moses Bekabya yalimba ngamaze nokukuba ebirayiro ngakutte ekitabo ekitukuvu! News: Ekimotoka kyenkokoto ekya Hardware World kyabuddeko mixer neggwa eri olunaku lweggulo! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 557 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM
News

IGG talina kunnyonyola Bannayuganda ku kyaba asazzeewo – Deputy IGG

October 31, 2023 · Mubiru Ali
Omumyuuka wa IGG Patricia Ochan bwabadde ayogerako eri Bannamawulire ayanukudde Ssentebe wa COSASE Joel Ssenyonyi namutegeeza nti okusinziira ku tteeka lya Inspectorate of Government Act, IGG tewali werimwetaagisizza kunnyonyola Bannayuganda lwaki aba asazeewo okuggya emisango ku muntu omu.
Ochan era awolerezza ekya IGG okuggya emisango ku Ebiru nategeeza nti COSASE yawaayo ebyo byokka ebyali mu ntuula zaayo nga tekuli bujulizi buluma ba mmemba bboodi nga bulaga nti basaba enguzi oba n’obwo obuyinza okulaga nti ddala ssente bazifuna ekya kifuula ekizibu eri IGG okugenda mu maaso n’emisango gyokugaba enguzi.