Hon. Musinguzi aleese obujulizi obuluma Dr. Musenero

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Mu bujulizi Hon. Musinguzi Yona bwayanjulidde Palamenti obujulizi, alaze Palamenti nti Auditor General yebuuza lwaki okukulembera okunoonyereza kuno kwatwalibwa Dr. Musenero nti era tewali kunoonyereza kwonna kwakolebwa nga tebanaweebwa ssente kutandika kukola ddagala ligema kirwadde kya COVID-19.
Hon. Musinguzi ayongeddeko nti Dr. Musenero yateeka bba Dr. Michael Masanza ne kizibwe we ku ttiimu (Preside) ngabakozi abenyigira kukuyiiya eddagala erigema era nga baweebwa omusaala. Ono ayongeddeko nti mukunoonyereza n’okuyiiya eddagala erigema ekirwadde kyonna kukolebwa mu ‘biosafety Lab Level 4’ nti era mu Afirika, ‘Labaratory’ ey’ekika kino eri mu South Africa wokka nga Yuganda erina ‘Biosafety Lab Level 2’ nga eri Uganda Virus Research Institute.”
. #PlenaryUg
Share.

Leave A Reply