Hon. Kyagulanyi yagaanyi selfie naffe – Hon. Peter Ogwanga

Omubaka Peter Ogwanga (NRM) wa Usuk County mu Katakwi District awandiise ebbaluwa ku mbeera y’Omubaka Kyagulanyi;

Njagala okukakasa nti ffe nga abakakiiko ka Parliament, nze ne banange bwetutuula ku kakiko kano okuli Hon. Arinaitwe katambuka Rwakajara (NRM) akiikirira bakozi, Hon. Doreen Ruth Amule (NRM) Bakyala Amolatar, Hon. Ibrahim Kasozi Biribawa (FDC) Makindye East, Hon. Anita Among (Indep) Bakyala Bukedea, twafunye olukusa okuva ewa Chief of Defence Forces okugenda okukyalira Hon. Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) e Makindye Military Barracks.

Okwawukanako nebitambuzibwa ku Social Media ebiwawaza amatu nti Bobi Wine ali mumbeera mbi, twamusanze mu mbeera nnungi. Hon. Kyagulanyi yatuwadde hug and musanyufu okutulabako, era nga ayogera bulungi nnyo naffe. Yebazizza abasawo ba UPDF olwokumulabirira obulungi nga bamuwa obujanjabi. Siswala kugamba nti kale alinako ebiwundu mu face naye ali bulungi.

Kale yatugambye nti awuliramu obulumi munsigo wamu n’egumba ly’ekisambi naye atukakasiza nti abasawo bagenda kukola scan okumanya ekituufu ekimuluma.

Hon Kyagulanyi yasabye bakirize abaana be okumulabako era nekikirizibwa ku lw’okubiri bagenda kumukyalirako e Makindye. Kyanaku nti Hon. Kyagulanyi yagaanyi okwekubya naye ebifaananyi nga agamba nti akyetaaga obudde ebiwundu bimale okukala.

Nabwekityo nsaba Bannayuganda mwenna okwewala engambo n’obubaka obufu ku mbeera y’obulamu bwa Hon. Kyagulanyi ne Hon. Zaake nga kati naye akubye ku matu.

Nga 23-Aug-2018 Bannayuganda mujja kufuna omukisa okulaba Hon. Kyagulanyi nga akomyewo mu Kkooti y’amaggye e Makindye.

Peter Ogwanga (NRM)

Usuk County, Katakwi District

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
kt mwamuwa mutya ettaka lya gavumenti kubwereere