Breaking
News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu! News: Minisita avunaanyizibwa ku byentambula nenguudo Hon. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Nsisinkanye abaami beggombolola okuva mu masaza ga Buganda, twogedde ku nsonga ezenjawulo naddala engeri gye
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 1,032 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Hon. Judith Nabakooba akyaddeko embuga

February 28, 2020 · Mubiru Ali

Minisita w’ebyempuliziganya, Tekinologiya n’obuyiiya mu Gavumenti ya wakati Hon. Judith Nabakooba akyaddeko embuga nawayaamu ne Katikkiro wamu ne Baminisita ba Kabaka ku ngeri gyebayinza okukwatira awamu okutumbula ebya Tekinologiya mu ggwanga.

Mu kwogerakwe, Katikkiro Charles Peter Mayiga ategeezezza nti mu biseera ebyayita omuntu eyalina zaabu, amafuta, oba obufuzi bw’amatwale yeyalinga omugagga, wabula mu kiseera kino omuntu alina Tekinologiya ye mugagga. Agambye nti enteekateeka zonna ez’okulaakulanya abantu zirina okuwagirwa Tekinologiya. Amusabye akole kaweefube w’okulaba nga bannayuganda bafuna smart phones kubanga omuntu alina smart phone ategeera mangu enteekateeka eziriwo.

Katikkiro asomoozezza aboogezi ba Gavumenti nti lwaki teboogera ku nteekateeka ziyamba bavubuka nga okulima emmwanyi. Kyewuunyisa nti aboogezi ba Gavumenti badda mu kwogera by’abufuzi okuva ku makya ppaka lwaggulo ebintu ebitayamba bantu.

Hon. Nabakooba yeebazizza Katikkiro n’obwakabaka olw’enteekateeka y’emmwanyi terimba eyambye abantu okwekulaakulanya.

Hon. Nabakooba awerekeddwako abakungu okuva mu minisitule gyakulembera.