Ham atutte omusaveya wa Disitulikiti e Wakiso mu Kakiiko akabataba

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Omusuubuzi w’omu Kampala Hamis Kiggundu avuddeyo naddukira mu Kitongole ekitaba abapunta mu Ggwanga ekya Surveyors Registration Board and the Institute of Surveyors of Uganda ngayagala kibonereze Omupunta wa Disitulikiti y’e Wakiso, Bashir Juma Kizito gwagamba yalina kyekuubira ngakola emirimu gye ku bwannanyini bw’ettaka eriweza yiika 140 erisangibwa e Kigo, mu Disitulikiti y’e Wakiso lyebakayanira ne Buganda Land Board (BLB).
Hamis agamba nti Commissioner of Land Registration bweyali awulira okwemulugunya kwa Buganda Land Board mu May, Kizito yeyanjula nga omukozi wa Disitulikiti y’e Wakiso ngomupunta, omukiise wa Buganda Land Board era Munnamateeka wa Kabaka.
Hamis ayongerako nti akakiiko k’ebyettaka aka Disitulikiti y’e Wakiso kabawa olukusa okufuna ebyapa ku ttaka lya Gavumenti nti era Kizito kino akimanyiiko kuba yenyigira mukusalawo kuno kuba yakebera era nakiriza okusalamu ettaka lino nga bino byaliwo nga 14-July-2020.
Share.

Leave A Reply