Breaking
News: Abanoonyi bobuddamu bakedde kwekalakaasiza ku kitebe kyAmawanga amagatte ekivunaanyizibwa ku banoonyi bobuddamu ekya United Nations High News: Nga 22 January 2027 ku Sheraton Gardens mu Kampala Omulangira Ndausi ategese ekivvulu kwagenda okujaguliza emyaka 35 mu media. Tubeeyo tumuwagire. News: Eggwanga lya Senegal kyaddaaki likakasiddwa nga linantameggwa lya Africa Cup of Nations AFCON 2025 oluvannyuma lwokuwangula okujjulira
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing · 127 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Hajji Muyanja Mbabaali,ssentebe wa NRM e Lwengo azzizzaayo empapula zokwesimbawo

August 18, 2015 · Mubiru Ali

Ekitebe ky’Akakiiko kebyokulonda mu kibiina kya NRM ku Kyaddondo Road mu Kampala,kyeyongeddemu ebbugumu nga ba memba abaagala okukwata bendera yaakyo mu kulonda okwa bonna bazzaayo empapula ze baatwala gye buvuddeko.
Bano baweebwa foomu olwokwetegekera okuvuganya mu kakungunta kekibiina okulondako abanaakwata bendera ya NRM ku mitendera gyobukulembeze egyenjawulo.
Olwaleero Hajji Muyanja Mbabaali,ssentebe wa NRM mu district y’e Lwengo mu Buddu azzizzaayo empapulaze mu ofiisi y’Akakiiko k’Ebyokulonda mu NRM,oluvannyuma n’ategeeza bannamawulire nti agenda kuvuganya ku kukwata bendera ku kifo kyomubaka mu palamenti ate avuganye ne ku bukulembeze bwa NRM mu Buganda.
Oluvannyuma ,omubaka omukyala owa district y’e Mpigi Nakawunde Sarah Temulanda,naye azzizzaayo empapula ze ate n’aweebwa endala.
Nakawunde Sarah Temulanda ategeezezza Radio Simba nti ayagala addemu akwate bendera ya NRM mu kalulu komwaka 2016 alyoke amalirize ebitawedde mu kisanja kya palamenti eyomwenda.
Nakawunde Temulanda agamba nti ayolekedde okuyitamu nga teri avuganya kuba mpaawo munna NRM mulala yaggyayo mpapula kumuvuganya mu kamyufu ka NRM.
Bya Waguma kisuule