Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
ON NOW Ekiggunda
Now Playing ยท 242 listening Simba FM Live
ekiggunda show photo

On Air

Ekiggunda

DJ Jet B

8:00 PM - 12:00 AM 8:00 PM - 12:00 AM
News

Hajji Kamoga wemumulabirako akwatibwe – Mulamuzi wa Kkooti Entebe

September 29, 2025 · Mubiru Ali

Omulamuzi w’eddaala erisooka owa Kkooti ye Entebe Edgar Tusiime oluna olwaleero ayisizza ekibaluwa kibakuntumye eri bbulooka w’ettaka Hajji Muhammad Kamoga owa Kamoga Property Consultants oluvannyuma lwokulemererwa okulabikako mu Kkooti yennyonyoleko ku misango egimuvunaanibwa okuli ogwokujingirira satifikeeti ya Munnamateeka emukiriza okukola.
Omulamuzi alagidde ono akwatibwa nga olwa 6 October terunatuuka. Ono avunaanibwa emisango egiwerako nga kigambibwa nti yajingirira sitampu n’omukono gwa Munnamateeka Lorna Nkamwesiga, okusobola okukyuusa mu lukujjukujju obwannanyini ku ttaka eriweza yiika 200 erisangibwa e Garuga, Entebe.
#ffemmwemmweffe