Gwebawawabira Gashumba teguwuliddwa

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Okuwulira omusango ogwawawabirwa Frank M. Gashumba kwongezeddwayo okutuuka nga 30 omwezi guno. Gyebuvuddeko katono waliwo omukyala akolera mu Minisitule y’ensonga zomunda mu Ggwanga amanyiddwa nga Deborah eyawawabira Gashumba ngamuvunaana okuteekawo embeera zobusosoze mu mawanga, bino byonna byadirira Gashumba okwemulugunya eri Minisitule y’ensonga zomunda okumma nga Abanyarwanda ppaasippooti nga babalanga okuba Abanyarwanda.
Olwaleero kkooti lwebadde erina okutandika okuwulira okwewozaako kwa Frank Gashumba kyokka nekitasoboka oluvannyuma lw’omulamuzi Kaleman Johnson abadde alina okubeera mu musango guno abadde n’olukiiko olumulemesezza okubeerawo bwegutyo negwongezebwayo okutuusa nga 30 ku balaza ya wiiki ejja.
Gashumba agamba tajja kussa mukono okutuusa nga afunye obwenkanya kuba bbo nga Abanyarwanda okuba Abanyarwanda tebaza musango.
Share.

Leave A Reply