Breaking
News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 415 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Gwebatwalako yiika z’ettaka 150 e Kayunga awanjagidde omulamuzi Bamugemereire

September 6, 2017 · Mubiru Ali

Waliwo omusajja mu Disitulikiti y’e Kayunga awanjagidde akakiiko k’omulamuzi Catherine Bamugemereire akali mu kanoonyereza ku ndooliito z’ettaka mu ggwanga kataase ettaka lye eriwerako yiika kikumi mu ataano(150) ly’agamba nti waliwo ow’oluganda lwa Minisita Lt. Henry Tumumukunde alimutwalako ku kifuba.ย 

Badru Ssemugga nga mutuuze ku kyalo Kigembo ekisangibwa mu ggombolola y’e Galilaaya mu Disitulikiti y’e Kayunga agamba nti Omusajja Kiiza Arthur ng’ayita Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ebyokwerinda, ย Lt. Henry Tumukunde kojja amusindiikiriza okuva ku ttaka lye era yapangisa n’agasajja ga kawuula agamutangira okugenda ku ttaka lino.