Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 238 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

gwebakwata n’enjaga awanjaga

February 12, 2019 · Mubiru Ali

Omuwala Munnayuganda eyakwatibwa ku kisaawe ky’ennyonyi e Dubai ng’asitudde ekitereke ky’amatooke ekigambibwa okubaamu enjaga. Shaniz Kartel kigambibwa nti yakwatiddwa nga yaakatuuka ku kisaawe e Dubai, kyokka agamba nti mukwano gwe Vegas ye yakimuwadde.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga yagambye nti poliisi etandise okunoonyereza ku nsonga y’omuwala ono.
“Twagala okuzuula mwannyina wa Shaniz eyamutwalira ekitereke e Ntebe abeebyokwerinda ne batazuula nti kyalimu enjaga, kyokka ab’e Dubai ne bagiraba,” Enanga bwe yategeezezza.
Yagasseeko nti, engeri UAE gye liri eggwanga eryetongodde, bagenda kubawa omukisa basooke bakole okunoonyereza kwabwe nga ne poliisi bw’enoonyereza engeri ekitereke ekyogerwako gye kyayita ku kisaawe e Ntebe. “Kino kibe ekyokuyigirako eri Bannayuganda abalala nti kibeera kyabulabe okukkiriza okutwalira omuntu omugugu nga tomanyi birimu.
Tugenda kukebera kkamera zaffe ez’oku kisaawe tulabe ekituufu ekyaliwo oluvannyuma tulabe ekinaddako,” Enanga bwe yategeezezza.
Shaniz yasinzidde mu kkomera n’alaajanira aboobuyinza mu Uganda okumuyamba ng’agamba nti waliwo mukwano ogwe Vegas ng’amannya ye Samson Kyamaggwa eyamusabye amutwalire ekitereke ky’amatooke kyokka olwatuuse ku kisaawe e Dubai abeebyokwerinda ne bamukwata nga bagamba nti yabadde n’enjaga.