Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 245 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

gwebakutte ayenda alula

February 11, 2019 · Mubiru Ali

Omuwala Angel Katusiime 18, asanze muganzi we Ashraf Mbaziira 21, ng’asinda omukwano n’omuwala omulala n’amwambalira. Yamukutte amataayi ne bekuba ebikonde n’ebigwo. Mu kavuvungano omuwala gwe baabadde baleese yeemuludde n’adduka.

Katusiime ekiruyi yakimalidde ku bba n’amufumita n’ekiso ku mukono. Katemba ono yabadde mu kabuga k’omu Nyendo mu kibuga Masaka. Omuvubuka naye yeesimatudde ku muwala eyabadde ataamye okukira engo n’afuluma.

Wano omuwala kwe kwongera okutabuka obusungu n’abumalira ku bintu by’omu nju byonna okuli engoye, emifaliso n’abisalaasala, ttivvi, woofa, ebikopo n’amasowaani byonna n’abyasa ne pikipiki Mbaziira gy’abadde akolerako bodaboda n’agiwamu omunnyo n’okugikoonakoona.

George Sseruyange yategeezezza nti Katusiime yali yanoba ennaku nga 3 emabega kyokka kirabika waliwo eyabamubagulizzaako nga Mbaziira bw’ayingizzaawo omuwala omulala n’akomawo ng’aliko n’obumansuka.

Poliisi y’omu Nyendo yazze n’ekwata Katusiime n’aggalirwa ku poliisi. Bano baanenyezza Mbaziira olw’okusussa okukyusakyusa abawala ekiviiriddeko entalo mu maka gaabwe ezitaggwa.

Omwogezi wa poliisi mu Greater Masaka, Lameck Kigozi yakakasizza okukwatibwa kwa Katusiime