Breaking
News: Eyali akulira ebyokulonda e Mukono Emilly Amongin eyekyuusiza mu kiti nga embazzi bweyasooka kulangilira Jonhson Muyanja Ssenyonga owa National Unity Platform ngomuwanguzi ku bwa Ssentebe bwa Disitulikiti e Mukono ate oluvannyuma nalangilira Francis Lukooya Mukooma owa National Resistance Movement News: Munnakibiina ki National Resistance Movement News: Kkooti Enkulu e Masaka egobye omusango ogwatwalibwayo Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing · 343 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM
News

Gravity eyawemulira mu luyimba lwa Taata tolina kwogera – Kafeero Swars

February 20, 2024 · Mubiru Ali
Luno lunaggwa!? Mutabani w’omugenzi Paul Job Kafeero avuddeyo nategeeza nti GRAVITTY OMUTUJJU yaddamu oluyimba lwa kitaabwe olwa Walumbe Zzaaya olwamufuula kyali wabula teyabawa yadde ekikumi nti era teyakoma kwekyo wabula nawemulira ne mu luyimba lwa kitaabwe ebitagambika naye bamuleka kuba balaba nga naye anoonya kuyitawo. Bano bongerako nti Bobi Wine yabanoonya bweyali addamu oluyimba lwa Dipo naziggala nasaba olukusa era nabawa ne ssente.
Kafeero SWARZ; “‘Kiswaza omuntu okusalawo okufuuka ekingiringiri ekisekererwa.’
Emyaka egiyise nasisinkana GRAVITTY OMUTUJJU nemulaba nga yali muvubuka alwana okuvaayo naye abeere mu bulamu obulungi netumuleka addemu oluyimba lwa kitaffe ‘Walumbe zzaaya’ nga tatusasudde yadde ekikumi.
Akaseera bwekagenze kayitawo mmwe abawagizi mwamuwa amatu okutuusa lweyafuuka ekiswaza.
Bobi Wine yaddamu oluyimba lwa Dippo nazziggala era natunoonya era natusasula mu kaseera wetwali twetaaga ebisale by’essomero (ebifaananyi mbitaddeko).
Waddamu oluyimba lwa kitaffe notatusasula yadde ekikumi ate noluyimbiramu ebigambo ebiwemula ebitaalimu. Tewakoma awo wakozesa n’ebifaananyi bya kitaffe mu vidiyo ssaako neddoboozi lyo okuwanirira ekiroboozi kyo ekifu.
Nabwekityo nga famire tusazeewo okuggyayo oluyimba lwa Walumbe zzaaya lwewaddamu okuva ku mitimbagano gyo.”