Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing · 316 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Ggoonya zaakalya 3 ku mugga Cafu – Masindi

June 5, 2017 · Mubiru Ali

Abantu abaliraanye omugga Cafu mu Disitulikiti y’e Masindi balaajanidde ab’ekitongole ekivunaanyizibwa ku nsolo zoomu  nsinko ekya Uganda World Life Authority okufuba okulaba nga bakola ekisoboka kyonna okujja okusengula Ggoonya ezibafuukidde ekyambika.

Kino kijjidde mu kiseera nga abaana basatu be baakaliibwa Ggoonya mu mugga Cafu mu bbanga lya mwezi gumu.

Asembyeyo abadde Sarah Okello wa myaka 17 nga yaliiriddwa Ggoonya ku Lwokuna lwa ssabbiiti ewedde bweyabadde agenze okukima amazzi.

Stephen Mukosa nga ono yaavunaanyizibwa ku Police post ey’e Kamengo akakasizza okufa kw’abaana bano n’agamba nti baaleeta lipoota ku Police oluvannyuma lw’abaana bano okuliibwa ggoonya. Naye Akissa ku b’ekitongole ekya Uganda World life Authority okwesuulirayo ogwa Nnaggamba okwanukula omulanga gw’abantu.