Breaking
News: Bano tebatumalira budde tebali ku mutindo gwa Ngule. JJ agobye abakontanyi ebibuuzo bibalamye! News: Bano Engule ya Radio Simba bajja kugirojja obulamu bwonna! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 677 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

German Federal Police etonedde Uganda Police piki piki 12

April 14, 2022 · Mubiru Ali
Poliisi okuva mu Ggwanga lya Bugirimaani (German Federal Police) olunaku olwaleero etonedde ekitongole kya Uganda Police Force ekya Directorate of Forensic Services piki piki 12 ku mukolo ogubadde ku kitebe kya Poliisi e Naguru.
Piki piki zino zikwasiddwa Chief Political Commissar AIGP Asan Kasingye ku lwa Inspector General of Police. Bwabadde akwasibwa Piki piki zino, AIPG Kasinge yebazizza Poliisi ya German olwobuyambi bwewa Poliisi ya Yuganda entakera okulaba nti etuusa obuweereza ku Bannayuganda. Ono agambye nti gyebuvuddeko babawa kkamera, forensic equipment, emotoka n’ebirala bingi.